, &

Basajja Mmekete – Uganda Martyrs Songs | Lugazi Diocese Choir

📥 Download Soulful PDF File below ⬇️

File Description File size Downloads
pdf Uganda Martyrs Mass Program Lugazi SHARE 35 MB 128

Download Free songs

BASAJJA MMEKETTE
By George W. Kitaka
Ddala ddala mwali basajja mwali bavumu ddala ddala mwali basajja. Mwalulinyako,
ddala ddala mwali basajja, mwaluwangula! Wamma ddala basajja mmekette! Muyoge
yoge nnyo mwe tubakulisa olutalo mwebale okulwana, mwalusimbako amannyo
mwaluwangula, mwali bavumu olutalo mwalutuula kunfeete, tubakulisa nnyo mwebale
okulwana. Abajulizi baffe, Mwali basajja nnyo…………wamma mwali basajja!
Mwali basajja mmekette…….mwali bazira nnyo,
Mwali basajja nnyo…………ne mufiirira eddiini
Mwali basajja mmekette…….sitaani mwamuswaza nnyo.
Mwali basajja nnyo…………ne musembeza Omukama.
Mwali basajja mmekette…….mwalekawo ebyensi,
Mwali basajja nnyo…………ne mwettanira ebyeggulu,
Mwali basajja mmekette…….balubaale mwabasuula eri!
Mwali basajja nnyo…………ne musembeza Yezu
Mwali basajja mmekette!.. emmekette, emmekette! Mwali basajja mmekette wamma muli bazira
nnyo abajulizi abaffe mwalekawo ebyensi ne mwettanira ebyeggulu mulubiri lwa Kabaka
mwalina ebitiibwa, mwalina ebirungi, mwali baana baboobwe, mwalina obuganzi ne mubireka
byonna ebyo muwereze Omukama kyamutanula nnyo ekyo Mwanga nasuukiira natuma
Mukaajanga n’abambowa abalala n’abaduumira nti: mugende mubakwate mubalijje mubookye
bafe baggwewo! N’abalala bakimanye Kabaka ye tajeemerwa!
Mukaajanga, Mukaajanga naye Mukaajanga!………. Mukaajanga
Bannange wali mukambwe………. Mukaajanga
Obusungu bwa nnabaki obwakutuusa kwetyo? ………. Mukaajanga
Bannange wali mukambwe………. Mukaajanga
Nga otumbidde ate ng’oswakidde! ………. Mukaajanga
Bannange wali mukambwe………. Mukaajanga
19
N’okuba emiggo nga tolina gw’otaliza
Bannange wali mukambwe………. Mukaajanga
N’obamyumyula ng’asiba ekinywa ky’enku!
Bannange wali mukambwe………. Mukaajanga
N’obakumako omurilo ng’ayokya ttanuulu
Bannange wali mukambwe………. Mukaajanga
Wa-la-la-la-la ekyalo kyabuna evvumbe
Bannange wali mukambwe………. Mukaajanga
Tubayozayoza abaffe mwatufiira. Muli bazira nnyo tubakuliza mwabonabona abaffe
babayingganya muli bazira temwaterebuka baabatekera omuliro nga mmwe musoma. Yezu
naabasiima nabawanguza. Mwayigiriza eddiini nga temwebaka Ekelezia wonna neyitimuka!
Eva ebule…………………Ekelezia
Nekwata ebweya………… Ekelezia etinta
Ebuvanjuba…………….…Ekelezia
N’ebugwanjuba……………Ekelezia etinta
Mu ssaza lyaffe ekkulu……Ekelezia
Wano mu Kampala…….… Ekelezia etinta
Tororo, Gulu………………Ekelezia
Ne e mbarara……………… Ekelezia etinta
Mu Uganda yonna…………Ekelezia
Ekelezia etinta …………… Ekelezia etinta
Bivuge! Bivuge ssebo emigabe n’embutu, amadinda n’amagwara bivuge! Amakondera,
entongooli, mujaguzo byonna bisindogome! Tuli mu ssanyu fenna tusagambiza, Tuli mu ssanyu
fenna tukyakyankya, olw’ekelezia katolika etinta, ku musaayi gwa Noa, kalori Lwanga ne banne
gwe baayiwa ogwayitimula eddini eyameruka Uganda yonna nga esibuka e Namugongo, e
Namugongo, e Namugongo, e Namugongo, e Namugongo, e Namugongo, e Namugongo, e
Namugongo, e Namugongo, eyameruka Uganda yonna nga esibuka e Namugongo!
Katusanyuke, katujaganye, tusagambize nnyo olw’abajulizi baffe abaluwangula. Mwakuma
ettawaza mwaima emisingi Ekelezia kwetudde ggulu ggulu.
Mutusabire naffe tuli mulugendo, ffe tunywerere naffe mu kukkiriza okwaffe. Mutusabire naffe
tuli mulugendo, tuttinattina tujja eyo tulamaga. Tujja wa Kitaffe eyo mu Ggulu, tuyimbire wamu
fenna nti Alleluia (Alleluia) Alleluia (Alleluia) Alleluia (Alleluia) Alleluia (Alleluia) Alleluia
(Alleluia) eyo mu Ggulu.

More from uco