BYE BINO LYRICS (Fr. James Kabuye)
Ekidd: Bye bino (Lugaba Ddunda), ebirabo byo Ddunda (bitwale);
Bye tuleese ffe nga tujaganya, ffe abaana bo Ddunda Katonda
(bisiime) x2
Tunaakuwa ki Ggwe ekisaana, tunaakuwa ki ffe abaavu.
Mpozzi Kitaffe (mpozzi Taata) ka tuleete evviini gy’otuwa,
Mpozzi Kitaffe (mpozzi Taata) ka tuleete omugaati gw’otuwa
Tubigatteko obulamu obwaffe. Bye birabo byaffe ebya leero.
- Ekibiina kyona Kirina essanyu Ddunda mu maaso go.
Amakula ge tuleeta, Galaze essanyu Taata ffe lye tulina.
Okuddiza Ddunda buganzi, Katonda waffe Ggwe osaana.
Osaana kutendwa Ddunda Lugaba asinga. - Ekibiina kyonna Tuzze kwebaza Ddunda ffe by‟otuwa.
Amakula ge tuleeta, kuba kuddiza Ddunda abitegeka.
Okuddiza Ddunda buganzi, Katonda waffe Ggwe osaana.
Osaana kutendwa Ddunda Lugaba asinga. - Ebirungi byonna, By‟otuwa Ssebo bingi, otwagala
Amakula ge tuleeta, Kuba kwebaza Ddunda, ebitone byo.
Okuddiza Ddunda buganzi, Katonda waffe Ggwe osaana.
Osaana kutendwa Ddunda Lugaba asinga. - Tukwebaza nnyo Ggwe Mukama, siima ebyaffe.
Tukwebaza nnyo, tukwebaza nnyo Nnamugereka
Tukwebaza nnyo Ggwe Mukama, ali wano naffe.
Tukwebaza nnyo, tukwebaza nnyo Nnamugereka
Tukwebaza nnyo Ggwe Mukama, ayamba abanaku.
Tukwebaza nnyo, tukwebaza nnyo Nnamugereka
Tukwebaza nnyo Ggwe Mukama, asobola ebingi.
Tukwebaza nnyo, tukwebaza nnyo Nnamugereka
Tukwebaza nnyo Ggwe Mukama, abifuga ebingi.
Tukwebaza nnyo, tukwebaza nnyo Nnamugereka
Tunajula ki w‟oli Mukama, w‟oli naffe.
Tukwebaza nnyo, tukwebaza nnyo Nnamugereka
Tunajula ki w‟oli Mukama, w‟oli Kitaffe.
Tukwebaza nnyo, tukwebaza nnyo Nnamugereka
Tunajula ki w’oli Mukama Ddunda Kitaffe.
Tukwebaza nnyo. tukwebaza nnyo Nnamugereka.