Uganda Catholic Music

About this song

EMPEERA Y’ABAGOBERERA
KRISTU Msgr. Expedito Magembe

Ekidd.: Bw’omwewa Omukama, ne weemaliza Omukama
Talikujuza Omukama oyo, talikujuza emirembe.

  1. Abamugoberera ….Talibajuza emirembe
    Talibajuza ………….Yabasuubiza okubaweera mu nsi muno ne gye
    bujja.
  2. Entalo zo alizirwana, obulamu bwo alibukuuma, Talikujuza emirembe,
    Aliba wuwo Omukama, aliba wuwo, naawe olibeera eyo, eyo mu ggulu. x2
    i Buli eyeevamu n‟amugoberera alimuwa - empeera
    ii Buli eyeeresa ebyensi eno alimuwa - empeera
    iii Buli alireka n‟abazadde alimuwa - empeera
    iv Buli alireka n‟emikwano alimuwa - empeera
    v Buli alireka n‟abaana alimuwa - empeera.
  3. Olifuna kikumi ku nsi kuno ne gye bujja, oligabana,
    Ku mpeera y‟abalungi emirembe.
  4. Olifuna kikumi ku nsi kuno ne gye bujja, oligabana,
    Ku mpeera y‟abanyiikira obutoosa.
  5. Olifuna kikumi ku nsi kuno ne gye bujja, oligabana,
    Ku mpeera y‟abalwana abazira. N‟omusalaba olifuna - n‟obonaabona
    N‟obonaabona ku lulwe - olwa Kristu
    N‟ebizibu olifuna - ogumanga
    Ne weewaayo ku lulwe - eyakuganza
    //Osaana onywerere ggwe - ku Katonda
    Omusaalaba togutya - gwe gulokola.// x2 Omukama Yezu alikuwa, alikuwa empeera ng‟omusenze.
    Omukama Yezu alikuwa, alikuwa empeera ng‟onywedde.
    Omukama Yezu alikuwa, alikuwa empeera bw‟omwewa. Kwata ekkubo ery‟akanyigo, kwata ekkubo era effunda
    Nywera ssebo, ggwe toddirira.
    Alikutwala obeere waggulu eri, waggulu awaladde ng‟omuli ku gwa ddyo.
    Ddunda alikuwa empeera, …….. alikuwa,
    Ddunda alikuwa empeera …….. alikuwa,
    Alikuwa, empeera.

“Bwomwewa Omukama” is a Luganda Catholic song by Msgr Expedito Magembe, used for the psalm & gospel acclamation at Mass. You can listen to it free on Uganda Catholic Music and download the MP3 to your phone.

Song
Bwomwewa Omukama
Sung by
Msgr Expedito Magembe
Language
Luganda
Part of the Mass
Psalm & Gospel acclamation
Length
4:41
Added
2 April 2025
Format
MP3 audio, free download
How to download “Bwomwewa Omukama”
  1. Tap the red Download button near the top of this page.
  2. On a phone, the MP3 saves to your Downloads folder (or Files on iPhone).
  3. Open it with any music player, or share it to your choir's WhatsApp group.

More from Msgr Expedito Magembe

More Luganda songs